Psalms 88

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 aAyi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
2Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
otege okutu kwo nga nkukoowoola.

3 bKubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
era nsemberedde okufa.
4 cMbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
5 dBandese wano ng’afudde,
nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
era nga tewakyali kya kubakolera.

6 eOntadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
7 fObusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
8 gAb’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
9 hAmaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 iEbyamagero byo onoobikoleranga bafu?
Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 jOkwagala kwo onookulaganga abali emagombe
n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 kNaye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 lAyi Mukama, onsuulidde ki?
Onkwekedde ki amaaso go?

15 mOmbonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 nBinzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
binsaanikiridde ddala.
18 oOmmazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
nsigazza nzikiza yokka.
Copyright information for LugEEEE